Difference between revisions of "Corpus:Enjangu ya Simooni"
(7 intermediate revisions by 2 users not shown) | |||
Line 1: | Line 1: | ||
− | {{Source|source=recording|author=[[User: | + | {{Source|source=recording|author=[[User:Samuel Namugala]]|editor=|title=Kkapa ya Simon|date/place=12.01.2012, Trondheim, Norway|volume/pages=|Olanguage=Ganda (Luganda)|ISBN=|publisher=Phonetic laboratory – ISK Dragvoll (Trondheim - Norway) |translanguage=|translator=[[User:Samuel Namugala]]|onlinedistribution=TypeCraft [[Classroom:Simon's_cat_-_multi-lingual]]|type=other|annotator=[[User:Samuel Namugala]]|contributor=[[User:Samuel Namugala]]|corpustranslator=Samuel Namugala|link=|article=Kkapa esooka n'ewulira ekiwuka nga kizannyira mu nju, oluvannyuma n'eyagala okukikwata. Ebuukabuuka naye nga buli kantu k'egezaako okubuukirako ekakoona ne kagwa wansi. Erinnya ku ntebe n'ebuuka ekakwate akawuka ne kagirema era oluvannyuma etunuulira omusajja nga yeebuuza lwaki tali mu kugifaako. Akawuka kongera okukaabira mu nju n'ekatunuulira, n'ekatunuulira mu 'angles' zonna, n'ebuuka okukakwata, ebintu by'ebuukirako ne bigwa akawuka ne kongera okukaabira waggulu.

Yeekweka emabega w'entebe akawuka ne kakaaba n'ejja ng'esooba okukakwata, wabula era n'eremwa okukakwata n'ebuukabuuka n'ekagoba n'ekagoba nga bwe kagiddusa ne keetooloola. Oluvannyuma kkapa ejja wansi awali akawuka n'ekakwata n'egezaako okukakuba n'ekigendererwa eky'okukatta. Ekakuba n'emikono gyayo egyomumaaso n'ekakuba n'ekakuba n'ekakuba, era bw'etuuka ekiseera n'ebeera convinced nti kafudde egenda ne yeekweka wansi w'ekitabo.

Bwe yeekweka wansi w'ekitabo egezaako okukakanga erabe oba ddala kituufu kafudde, wabula n'etandika okwebuuza nti "ki kino kye nzise?" Okusinziira ku bubonero bw'ekozesa ebuuza ekitabo kigibuulire naye ng'ekitabo tekiginyega , ky'ekola n'ekwata akawuka n'emimwa gyayo n'ekasuulira omusajja eyali atudde mu ntebe, n'emukoonako nga bw'emubuuza agibuulire "kaki kano?" Omusajja taginyega, n'eyongera okumubuuza, kye yakola akawuka n'ekasuula mu kamwa k'omusajja, oluvannyuma omusajja n'awulira nga waliwo ekitagenda bulungi mu maaso , n'atandika okubuukabuuka nga yeebuuza ky'abadde. Kkapa emutunuulira n'emutunuulira nga bw'ekozesa obubonero okumubuuza nti "ako ke nkusudde mu kamwa bakayita batya?" Omusajja yeekwata ku lubuto nga tamanyi bigenda mu maaso, era awo we bikoma.

[[Category:Ganda (Luganda) Corpus]]}} |
Latest revision as of 21:28, 21 May 2012
Source | recording |

Author/Creator/Speaker(s) | User:Samuel Namugala |
Title | Kkapa ya Simon |
Original language | Ganda (Luganda) |
Date/Place | 12.01.2012, Trondheim, Norway |
Publisher | Phonetic laboratory – ISK Dragvoll (Trondheim - Norway) |
Translator | User:Samuel Namugala |
Online distribution | TypeCraft Classroom:Simon's_cat_-_multi-lingual |
Type | other |
Annotator | User:Samuel Namugala |
Contributor | User:Samuel Namugala |
Corpus translator | Samuel Namugala |
Kkapa esooka n'ewulira ekiwuka nga kizannyira mu nju, oluvannyuma n'eyagala okukikwata. Ebuukabuuka naye nga buli kantu k'egezaako okubuukirako ekakoona ne kagwa wansi. Erinnya ku ntebe n'ebuuka ekakwate akawuka ne kagirema era oluvannyuma etunuulira omusajja nga yeebuuza lwaki tali mu kugifaako. Akawuka kongera okukaabira mu nju n'ekatunuulira, n'ekatunuulira mu 'angles' zonna, n'ebuuka okukakwata, ebintu by'ebuukirako ne bigwa akawuka ne kongera okukaabira waggulu.